Isaiah 44:9-11


9 aAbo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 bAni akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 cLaba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
Copyright information for LugEEEE